2 Kings 15:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omunaana ogwa Azariya kabaka wa Yuda, Zakariya mutabani wa Yerobowamu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli mu Samariya; yafugira emyezi mukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omunaana ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Zekkaliya mutabani wa Yerobowaamu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, n’afugira emyezi mukaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogw'asatu mu omunaana (38) ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Zekkaliya mutabani wa Yerobowaamu ow'okubiri n'afugira Isiraeri mu Samaliya emyezi mukaaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omunaana nga Azariya ye kabaka wa Buyudaaya, Zekariya mutabani wa Yerobowaamu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyezi mukaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu munaana ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Zekkaliya mutabani wa Yerobowaamu n'afugira Isiraeri mu Samaliya emyezi mukaaga.