2 Kings 15:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama, nga bajjajjaabe bwe baali bakoze; teyava mu bibi bya Yerobowamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Yisirayeli okugwamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, nga bajjajjaabe bwe baakola, n’atakyuka okuva mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga bajjajjaabe bwe baakolanga: teyava mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati ebyaleetera Isiraeri okwonoona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akola ebibi n'anyiiza Mukama nga bajjajjaabe bwe baakolanga. N'atalekaayo kukola bibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ebyaleetera Yisirayeli okwonoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga bajjajjaabe bwe baakolanga: teyava mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri.