2 Kings 16:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo kabaka Akazi n'agenda okusisinkana Tigulati-Pileeseri kabaka wa Assuri mu Damasiko. Akazi bwe yalaba omwaliiro ogwali mu Damasiko n'aweereza ewa Wuriya kabona ekifaananyi n'entereeza yonna ey'enzimba yaagwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Akazi n’agenda e Ddamasiko okusisinkana Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli, era eyo n’alabayo ekyoto ekyali mu Ddamasiko. Amangwago kabaka Akazi n’aweereza Uliya kabona ekifaananyi ky’ekyoto ekyo, n’engeri gye kiteekwa okuzimbibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Akazi n'agenda e Ddamasiko okusisinkana ne Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli, n'alabayo ekyoto: kabaka Akazi n'aweereza Uliya ekifaananyi ky'ekyoto ekyo ekiraga engeri yonna gyekyakolebwamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka Ahazi n'agenda e Damasiko okusisinkana Tigulati Peleseri kabaka wa Assiriya. Ahazi n'alaba alutaari eyali e Damasiko, n'aweereza Wuriya kabona ekifaananyi ky'alutaari eyo, ekiraga engeri yonna gye yakolebwamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Akazi n'agenda e Ddamasiko okusisinkana ne Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli, n'alaba ekyoto ekyali e Ddamasiko: kabaka Akazi n'aweereza Uliya kabona embala y'ekyoto n'engeri yaakyo ng'omulimu gwakyo gwonna bwe gwali.