2 Kings 16:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuriya kabona n'azimba omwaliiro ng'agoberera entereeza yonna kabaka Akazi gye yali aweerezza ng'ayima e Damasiko, n'amaliriza nga kabaka Akazi tannadda okuva e Damasiko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Uliya kabona n’azimba ekyoto, ng’ebiragiro bya kabaka Akazi bye yaweereza okuva e Ddamasiko bwe byali, era n’agimaliriza nga kabaka Akazi tannava Ddamasiko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Uliya kabona n'azimba ekyoto ng'agoberera byonna bwe byali kabaka Akazi bye yaweereza ng'ayima e Ddamasiko. Bw'atyo bwe yakikola, n'akimaliriza nga kabaka Akazi tannakomawo okuva e Ddamasiko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wuriya kabona n'azimba alutaari ng'agoberera ebyo byonna Kabaka Ahazi bye yamuweereza ng'asinziira e Damasiko. Bw'atyo bwe yagikola, n'agimaliriza nga Kabaka Ahazi tannakomawo okuva e Damasiko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Uliya kabona n'azimba ekyoto nga byonna bwe byali kabaka Akazi bye yaweezeza ng'ayima e Ddamasiko bw'atyo Uliya kabona bwe yakikola kabaka Akazi akisange ng'avudde e Ddamasiko.