2 Kings 16:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwaliiro ogw'ekikomo ogwali mu maaso g'Omukama yaguggya mu maaso g'Ekiggwa, kwe kugamba, okuva wakati w'omwaliiro omuggya n'Ekiggwa ky'Omukama, n'agussa ku luuyi lw'omwaliiro omuggya olw'emambuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aggyawo ekyoto eky’ekikomo ekyabeeranga mu maaso ga Mukama mu yeekaalu wakati w’ekyoto kye ne yeekaalu ya Mukama, n’akiteeka ku luuyi olw’obukiikaddyo obw’ekyoto kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyoto eky'ekikomo ekya Mukama ekyali wakati we kyoto kya Akazi kyeyazimbisa ne nnyumba ya Mukama, n'akiggyawo n'akiteeka ku luuyi olw'obukiikakkono obw'ekyoto kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alutaari ey'ekikomo eyali ewongeddwa Mukama yali wakati w'alutaari empya n'ennyumba eyoomunda mu Ssinzizo. Ahazi n'agiggyawo, n'agiteeka ku ludda olw'ebukiikakkono obw'alutaari empya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ekyoto eky'ekikomo ekyali mu maaso ga Mukama n'akiggya mu bwenyi bw'ennyumba wakati w'ekyoto kye n'ennyumba ya Mukama, n'akiteeka ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'ekyoto kye.