2 Kings 16:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era kabaka Akazi n'alagira Wuriya kabona nti: “Ku mwaliiro omunene kw'oba oweererezanga ekitambiro ekyokye eky'oku makya n'ekitone eky'obuwunga eky'akawungeezi, ekitambiro kya kabaka ekyokye n'ekitone kye eky'obuwunga, ebitambiro ebyokye eby'abantu bonna mu ggwanga, n'ebitone byabwe eby'obuwunga n'eby'okuyiwa. Mansira ku mwaliiro gwonna omusaayi gwonna ogw'ebitambiro ebyokye n'ebitone. Gwo omwaliiro ogw'ekikomo nnaagweyambanga okwebuuza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Akazi n’alagira Uliya kabona nti, “Ku kyoto ekinene, weerayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’enkya n’ekiweebwayo eky’obutta eky’akawungeezi, eky’okuwaayo ekyokebwa ekya kabaka, n’ekyokuwaayo kye eky’obutta, n’ekyokuwaayo ekyokebwa eky’abantu ab’omu nsi, n’ekiweebwayo kyabwe eky’obutta, n’ekiweebwayo kyabwe ekyokunywa. Omansire ku kyoto omusaayi gwonna ogw’ebiweebwayo ebyokebwa, n’omusaayi gwonna ogwa ssaddaaka. Wabula ekyoto eky’ekikomo kinaabeeranga kyange nga kya kwebuuzaako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Akazi n'alagira Uliya kabona nti Ku kyoto kino ekyange ekinene kw'obanga oyokera ekiweebwayo eky'obutta ekya buli kawungeezi n'ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo eby'obutta ebya kabaka n'eby'abantu bonna mu ggwanga, n'ebiweebwayo byabwe eby'okunywa; era omansirangako omusaayi gw'ensolo zonna eziwereddwayo nga ssaddaaka. Naye ekyoto eky'ekikomo kinaabanga kyange kya kwebuulizaako eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Ahazi n'alagira Wuriya Kabona nti: “Ku alutaari eno ennene kw'obanga oyokera ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekya buli kawungeezi, n'ebiweebwayo ebyokebwa nga kiramba, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke ebya kabaka n'eby'abantu bonna mu ggwanga, n'ebiweebwayo byabwe eby'ebyokunywa. Era kw'onoomansiranga omusaayi gw'ensolo zonna ezitambiddwa. Naye alutaari ey'ekikomo eneebanga yange ya kwebuulizaako eri Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Akazi n'alagira Uliya kabona ng'ayogera nti Oyokeranga ku kyoto ekinene ekiweebwayo ekyokebwa eky'enkya n'ekiweebwayo eky'obutta eky'akawungeezi n'ekiweebwayo ekyokebwa ekya kabaka n'ekikye ekiweebwayo eky'obutta, wamu n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'abantu bonna ab'omu nsi eyo n'ekyabwe ekiweebwayo eky'obutta n'ebyabwe ebiweebwayo ebyokunywa; omansirangako omusaayi gwonna ogw'ekiweebwayo ekyokebwa n'omusaayi gwonna ogwa saddaaka: naye ekyoto eky'ekikomo kinaabanga kya kulagulirako gye ndi.