2 Kings 16:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Akazi yaggya ku butandaalo enzizi, era n'ebinaabirwamu n'abiggyako. Ennyanja ey'ekikomo yagiggya ku nte ez'ekikomo ezaali zigiwanirira n'agissa awaaliriddwa amayinja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Akazi n’atemako emigo gye biyimirirwako, ne bensani n’aziggya kwe zaabeeranga, ate n’aggya n’ennyanja okuva ku nte ennume ez’ekikomo, eza giwaniriranga, n’agiteeka ku mayinja amaliire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Akazi n'asalako emigo ku bikondo ebyali bikozesebwa mu nnyumba ya Mukama, n'aggyako ebbenseni ezaali ku byo ne ttanka ey'ekikomo eyali etudde ku bifaananyi by'ente ekkumi ne bbiri (12) ez'ekikomo, n'agiteeka wansi ku mayinja amaaliire.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Ahazi n'asalako emigo ku bikondo ebyali bikozesebwa mu Ssinzizo, n'aggyamu ebbenseni ezaali ku byo. Era n'aggya ogutanka ogw'ekikomo ku bifaananyi by'ente ekkumi n'ebbiri eby'ekikomo n'aguteeka ku musingi ogw'amayinja amaaliire.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Akazi n'asalako emigo gy'entebe n'aggya ekinaabirwamu ku zo; n'assa ennyanja ng'agiggya ku ntebe ez'ebikomo ezaali wansi waayo, n'agiteeka ku mayinja amaaliire.