2 Kings 16:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubeera kabaka wa Assuri yaggyawo ekidaala kya sabbaato ekyali kizimbiddwa ku Kiggwa n'ekkubo lya kabaka w'ayingirira eryali ebweru w'Ekiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aggyawo n’ekyabikkanga ku kkubo erya ssabbiiti eryali lizimbiddwa okumpi ne yeekaalu, ate era n’aggyawo n’ekkubo erya kabaka ery’ebweru wa yeekaalu ya Mukama, olwa kabaka w’e Bwasuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olukuubo olusereke olw'okuyitamu ku Ssabbiiti olwali luzimbiddwa munda w'olubiri, n'omulyango kabaka gwe yayingirirangamu mu nnyumba ya Mukama, n'abiziba okusanyusa kabaka wa Bwasuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olukuubo olusereke olw'okuyitamu ku Sabbaato olwali luzimbiddwa munda w'olubiri, n'omulyango Kabaka gwe yayingirirangamu mu Ssinzizo, n'abiziba okusanyusa kabaka wa Assiriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekkubo eryabikkibwako erya ssabbiiti lye baali bazimbye mu nnyumba n'omulyango gwa kabaka ebweru n'alyetoolooza ennyumba ya Mukama olwa kabaka w'e Bwasuli.