2 Kings 16:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akazi yatandika okufuga nga wa myaka amakumi abiri; yafugira mu Yeruzaalemu emyaka kkumi na mukaaga. Teyakola kituufu mu maaso ga Mukama Katondawe nga Dawudi jjajjaawe bwe yakola,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akazi yali wa myaka amakumi abiri we yatandikira okufuga, era n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda we, obutafaanana nga jjajjaawe Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akazi yali awezzeza emyaka abiri (20) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukaaga (16) mu Yerusaalemi. N'atakola birungi mu maaso ga Mukama Katonda we nga jjajjaawe Dawudi bweyakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga wa myaka amakumi abiri, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemu. N'atakola birungi ebisanyusa Mukama, Katonda we, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakolanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akazi yali yaakamaze emyaka amakumi abiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi: n'atakola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi nga Dawudi kitaawe.