2 Kings 16:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula yagoberera amakubo ga bakabaka ba Yisirayeli. Era yawonga ne mutabani we mu muliro, n'akola ebyenyinyalwa eby'amawanga Omukama ge yali agobeddewo abantu ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atambulira mu ngeri za bassekabaka ba Isirayiri, era n’okuwaayo n’awaayo mutabani we ng’ekiweebwayo, ng’agoberera eby’emizizo eby’amawanga Mukama ge yali agobye mu maaso g’Abayisirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri ebbi, n'ayokya mutabani we mu muliro nga ssaddaaka ng'eby'emizizo bwe byali eby'ab'amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka n'agoberera empisa embi eza bassekabaka ba Yisirayeli, era n'ayokya ne mutabani we mu muliro ng'ekitambiro, nga bwe yali empisa eyenyinyalwa ab'amawanga amalala, Mukama be yagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli banaatera okutuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, n'okuyisa n'ayisa mutabani we mu muliro ng'eby'emizizo bwe byali eby'ab'amawanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.