2 Kings 16:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo kabaka wa Edomu n'anunula Elati n'akiddiza Edomu. Yagobamu Abayudaaya, Abeedomu ne basenga mu Elati, ne babeera omwo n'okutuusa olunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera kye kimu, Lezini kabaka wa Busuuli n’agoba abasajja ba Yuda okuva mu Erasi n’akiddiza Abasuuli, era gye babeera ne leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kiseera ekyo Lezini kabaka w'e Busuuli mwe yawangulira Erasi, ne kiba kya Busuuli, n'akigobamu aba Yuda abaakirimu, Abasuuli ne babeera mu Erasi n'okutuusa kati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo Rezini kabaka wa Siriya mwe yawangulira Elati, ne kiba kya Siriya, n'akigobamu Abayudaaya abaakirimu, Abassiriya ne babeera mu Elati n'okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo Lezini kabaka w'e Busuuli mwe yakomerezaawo Obusuuli e Erasi n'agoba Abayudaaya mu Erasi: Abasuuli ne bajja e Erasi ne babeera eyo ne leero.