2 Kings 16:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akazi n'atuma ababaka ewa Tigulati-Pileeseri kabaka wa Assuri, bamugambe nti: “Nze ndi muweereza wo, mutabani wo. Jjangu eno, omponye mu mikono gya kabaka wa Aramu ne mu gya kabaka wa Yisirayeli abannumbye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Akazi n’atuma ababaka eri Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli, okumugamba nti, “Ndi muddu wo era mutabani wo, nkwegayiridde jjangu ondokole okuva mu mukono gwa kabaka wa Busuuli; n’okuva mu mukono gwa kabaka wa Isirayiri abannumbye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Akazi n'atumira Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli ababaka ng'ayogera nti Nze ndi muddu wo era ndi mwana wo: jjangu ontaase mu mukono gwa kabaka w'e Busuuli ne mu mukono gwa kabaka wa Isiraeri abannumbye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ahazi n'atumira Tigulati Pileseri kabaka wa Assiriya ababaka ng'agamba nti: “Nze ndi muweereza wo era mwana wo. Jjangu omponye kabaka wa Siriya ne kabaka wa Yisirayeli abannumbye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Akazi n'atumira Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli ababaka ng'ayogera nti Nze ndi muddu wo era ndi mwana wo: yambuka omponye mu mukono gwa kabaka w'e Busuuli ne mu mukono gwa kabaka wa Isiraeri abangolokokeddeko.