2 Kings 16:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akazi n'akuŋŋaanya ffeeza ne zaabu eyasangibwa mu Kiggwa ky'Omukama ne mu nkuluze z'olubiri lwa kabaka, n'amuweereza kabaka wa Assuri ng'ebirabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akazi n’aggya effeeza ne zaabu ebyabeeranga mu yeekaalu ya Mukama, ne mu mawanika ag’omu lubiri lwa kabaka, n’agiweereza ng’ekirabo eri kabaka w’e Bwasuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Akazi n'aggyayo ezaabu n'effeeza eyasangibwa mu nnyumba ya Mukama, ne by'obugagga ebyali mu nnyumba ya kabaka, n'abiweereza kabaka w'e Bwasuli ng'ekirabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ahazi n'aggyayo ffeeza ne zaabu eyasangibwawo mu Ssinzizo ne mu ggwanika ly'olubiri lwa kabaka, n'amuweereza kabaka wa Assiriya, nga kye kirabo ky'amuwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Akazi n'addira ezaabu n’effeeza ezaalabika mu nnyumba ya Mukama ne mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, n'abiweereza kabaka w'e Bwasuli okuba ekirabo.