2 Kings 17:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baasimba empagi emponge, n'empagi za Asera ku buli kasozi akawanvu na buli wansi wa muti oguggumizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne beesimbira empagi ez’amayinja n’eza Baasera, ku buli kasozi akawanvu, ne wansi wa buli muti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne beesimbira empagi ez'amayinja n'ebifaananyi bya Asera, katonda omukazi ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne basimba ku buli lusozi oluwanvu, na buli wansi wa muti ogw'amakoola empagi z'amayinja n'ebifaananyi bya Asera, lubaale omukazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne beesimbira empagi ne Baasera ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi: