2 Kings 17:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baanyookezanga obubaani ku buli kifo kigulumivu ng'ab'amawanga Omukama be yali agobyewo mu maaso gaabwe bwe baali bakola. Baakola ebibi ebyanyiiza Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bookera obubaane ku buli kifo ekigulumivu ng’amawanga gali Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe bwe gaakolanga. Ne bakola ebintu eby’ekivve ne basunguwaza Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bootererezanga obubaane ku bifo ebyo ebigulumivu ng'amawanga Mukama ge yasooka okuggyawo, bwe gakolanga ebibi ne gasunguwaza Mukama:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne banyookerezanga obubaane mu bifo byonna ebigulumivu, ng'ab'amawanga amalala abo bwe baakolanga, Mukama be yaggyawo nga bo Abayisirayeli banaatera okutuuka. Ne bakolanga ebibi, ne basunguwaza Mukama,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bootererezanga eyo obubaane ku bifo byonna ebigulumivu ng'amawanga bwe gaakolanga Mukama ge yaggyawo okubasooka; ne bakolanga eby'ekyejo okusunguwaza Mukama: