2 Kings 17:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baasinza ebifaananyi bya balubaale Omukama bye yali abaweereddeko ekiragiro nti: “Ekyo temukikolanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne basinza ebifaananyi, ate nga Mukama yali abalagidde nti, “Temukolanga ekyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne basinzanga ebifaananyi Mukama bye yagamba nti Temubisinzanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne basinza ebyo ebitali Katonda, Mukama bye yabagamba nti: “Temuubisinzenga!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne baweerezanga ebifaananyi Mukama bye yabagambako nti Temukolanga kigambo kino.