2 Kings 17:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yali alabulidde ddala Yisirayeli ne Yuda ng'ayita mu balanzi bonna ne mu balabi bonna nti: “Mukomeewo, muve mu makubo gammwe amabi, mukwate ebiragiro byange n'amateeka gange, nga bwe biri mu Tteeka lyonna lye nalagira bajjajjammwe baliwulire, era lye natuma gye muli nga mpita mu baweereza bange abalanzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’alabula Isirayiri ne Yuda ng’akozesa bannabbi n’abalabi nti, “Mukyuke muve mu bibi byammwe, mukuume amateeka gange n’ebiragiro byange, ng’etteeka bwe liri lye nalagira bajjajjammwe, lye nabaweereza nga nkozesa abaddu bange bannabbi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama n'alabulanga Isiraeri ne Yuda ng'ayita mu bannabbi na buli mulabi ng'agamba nti Mukyuke muve mu makubo gammwe amabi mukwatenga ebiragiro byange n'amateeka gange ng'amateeka gonna bwe gali ge nnalagira bajjajjammwe, era ge n'abawa nga mpita mu baddu bange bannabbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'alabulanga Yisirayeli ne Buyudaaya ng'ayita mu buli mulanzi ne mu buli mulabi, ng'agamba nti: “Mukyuke, mulekeeyo empisa zammwe embi, mukwate ebiragiro byange bye nabateerawo mu mateeka gange ge nawa bajjajjammwe nga mpita mu baweereza bange abalanzi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye Mukama n'ategeerezanga Isiraeri ne Yuda mu mukono gwa buli nnabbi n'ogwa buli mulabi ng'ayogera nti Mukyuke muve mu makubo gammwe amabi mukwatenga ebiragiro byange n'amateeka gange ng'amateeka gonna bwe gali ge nnalagira bajjajjammwe era ge nnabaweereza mu mukono gw'abaddu bange bannabbi.