2 Kings 17:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo tebaawulira, wabula baakakanyaza ensingo zaabwe nga bajjajjaabwe bwe baakola abaagaana okwesiga Omukama Katonda waabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne batawuliriza, ne baba bakakanyavu nga bajjajjaabwe bwe baali, abateesiga Mukama Katonda waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka ne batawulira, wabula ne bakakanyaza emitima gyabwe nga bajjajjaabwe abaagaana okwesiga Mukama Katonda waabwe, bwe baakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ne batawulira, wabula ne bakakanyaza emitima gyabwe nga bajjajjaabwe abaagaana okwesiga Mukama, Katonda waabwe, bwe baakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye ne bataganya kuwulira naye ne bakakanyazanga ensingo yaabwe ng'ensingo ya bajjajjaabwe abatakkiriza Mukama Katonda waabwe.