2 Kings 17:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baasambajja amateeka n'endagaano gye yakola ne bajjajjaabwe, n'okulabula kwe yabalabulangamu. Baagoberera ebifaananyi bya balubaale omutali kantu nabo ne baggwaamu ensa. Baagoberera ab'amawanga ababeetoolodde, newandibadde nga Omukama yali abagambye nti: “Temukola nga bwe bakola;” naye bo ne bakola Omukama bye yali abagaanyi okukola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne banyooma ebiragiro n’endagaano gye yali akoze ne bajjajjaabwe, n’okulabula kwe yali abawadde. Ne bagoberera bakatonda abataliimu, ate nabo ne bafuuka ebitagasa. Ne bakola ng’amawanga agaali gabeetoolodde bwe gaakolanga, newaakubadde nga Mukama yali abalabudde nti, “Temukolanga ebyo bye bakola.” Ne bakola byonna Mukama bye yali abagaanye okukola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagaana okukwata amateeka ge, n'okukuuma endagaano gye yakola ne bajjajjaabwe, ne batafa ku kulabula kwe yabalabulamu. Ne basinza ebitagasa, nabo ne bafuuka ebitagasa, ne bagoberera empisa z'ab'amawanga agabeetoolodde, sso nga Mukama yabagaana okuyisa ng'ab'amawanga ago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagaana okukwata amateeka ge, n'okukuuma endagaano gye yakola ne bajjajjaabwe, ne batafa ku kulabula kwe yabalabulamu. Ne basinza ebitagasa, nabo ne bafuuka ebitagasa, ne bagoberera empisa z'ab'amawanga agabeetoolodde, nga sso Mukama yabagaana okuyisa ng'ab'amawanga ago.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagaananga amateeka ge n'endagaano ye gye yalagaana ne bajjajjaabwe n'ebyo bye yategeeza gye bali; ne bagobereranga ebirerya ne bafuukanga ba birerya, ne bagobereranga amawanga agabeetoolodde, Mukama ge yabakuutirako baleme okukola okubafaanananga.