2 Kings 17:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baaleka ebiragiro byonna eby'Omukama Katonda waabwe, ne beekolera ebifaananyi bibiri eby'obuyana obusaanuuse n'empagi za Asera. Baavunnamira eggye ly'emmunyeenye z'eggulu, ne basinza Baali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bava ku mateeka ga Mukama Katonda waabwe gonna, ne baweesa ebifaananyi by’ennyana bibiri, n’empagi ey’Asera, ne basinza n’eggye lyonna ery’omu ggulu era ne basinzanga ne Baali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne baleka ebiragiro byonna ebya Mukama Katonda waabwe, ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse, ennyana bbiri, ne bakola Asera, ne basinzanga emmunyeenye zonna ez'oku ggulu, ne baweerezanga Baali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bava ku biragiro byonna ebya Mukama, Katonda waabwe, ne beekolera mu kyuma ekisaanuuse ebifaananyi bye banaasinzanga: ennyana bbiri, n'ekifaananyi kya lubaale omukazi, Asera. Ne basinzanga emmunyeenye zonna ez'oku ggulu, era ne baba baweereza ba Baali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne baleka ebiragiro byonna ebya Mukama Katonda waabwe, ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse, ennyana bbiri, ne bakola Asera, ne basinzanga eggye lyonna ery'omu ggulu, ne baweerezanga Baali.