2 Kings 17:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'asunguwalira nnyo Yisirayeli, n'abaggyawo mu maaso ge; tewaasigalawo n'omu, mpozzi ekika kya Yuda kyokka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isirayiri, n’abagoba mu maaso ge, n’alekawo ekika kya Yuda kyokka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isiraeri n'abagoba mu maaso ge: tewaali gwe yalekawo okuggyako ekika kya Yuda kyokka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bw'atyo n'asunguwalira nnyo Abayisirayeli, n'abagoba mu maaso ge ne watasigalawo n'omu, okuggyako ab'omu Buyudaaya bokka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isiraeri n'abaggya mu maaso ge: tewaali eyasigalawo wabula ekika kya Yuda kyokka.