2 Kings 17:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka ne Yuda yennyini teyakwata biragiro bya Mukama Katonda we; baagoberera empisa za Yisirayeli ze yayisanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka ne Yuda ne batakuuma mateeka ga Mukama Katonda waabwe, naye ne bagoberera empisa za Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne Yuda ne batakwatanga biragiro bya Mukama Katonda waabwe, ne batambuliranga mu mateeka ga Isiraeri ge baateeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye n'ab'omu Buyudaaya ne batakwatanga biragiro bya Mukama, Katonda waabwe, wabula ne bagobereranga obulombolombo ab'omu Yisirayeli bwe beeteerawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne Yuda ne batakwatanga biragiro bya Mukama Katonda waabwe, naye ne batambuliranga mu mateeka ga Isiraeri ge baateeka.