2 Kings 17:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'asuula eri eggwanga lya Yisirayeli lyonna, n'ababonyaabonya, n'abawaayo mu mikono gy'abanyazi, okutuusa lwe yabaggyawo mu maaso ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama kyeyava aleka ezzadde lyonna erya Isirayiri, n’ababonereza, n’abawaayo mu mikono gy’abanyazi, n’okubagoba n’abagobera ddala okuva mu maaso ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agaana ezzadde lyonna erya Isiraeri n'ababonyaabonyanga n'abagabula mu mukono gw'abanyazi okutuusa lwe yabagoba mu maaso ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aboola Abayisirayeli bonna, n'ababonereza ng'abawaayo mu mikono gy'abalabe baabwe, okutuusa lwe yabagoba mu maaso ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agaana ezzadde lyonna erya Isiraeri n'ababoonyaboanyanga n'abagabula mu mukono gw'abanyazi okutuusa lwe yabagoba mu maaso ge.