2 Kings 17:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Luli Yisirayeli lwe yeekutula ku nnyumba ya Dawudi, ne bafuula Yerobowamu mutabani wa Nebati kabaka waabwe, Yerobowamu yaggya Yisirayeli ku Mukama n'abaleetera okugwa mu kibi ekinene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yayawula Isirayiri ku nnyumba ya Dawudi, ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka waabwe. Yerobowaamu n’aleetera Isirayiri okuviira ddala ku mukama, n’abayonoonyesa n’okusingawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga yayuzaamu Isiraeri okubaggya ku nnyumba ya Dawudi; ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka. Yerobowaamu n'ajeemesa Isiraeri, n'abaleetera okwonoona okunene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bwe yayawula Yisirayeli ku b'ennyumba ya Dawudi, ab'omu Yisirayeli, Yerobowaamu mutabani wa Nebaati gwe baafuula kabaka waabwe. Yerobowaamu oyo, n'asigula ab'omu Yisirayeli okuva ku Mukama, bw'atyo n'abaleetera okukola ekibi ekinene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga yayuzaamu Isiraeri okubaggya ku nnyumba ya Dawudi; ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati kabaka: Yerobowaamu n'agoba Isiraeri obutagoberera Mukama, n'aboonoonyesa okwonoona okunene.