2 Kings 17:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okutuusa Omukama lwe yaggyawo Yisirayeli mu maaso ge, nga bwe yali ayogedde ng'ayita mu baweereza be bonna abalanzi. Bw'atyo Yisirayeli n'agenda mu buwaŋŋanguse okuva mu nsi ye, n'atwalibwa mu Assuri, gy'ali n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okutuusa Mukama lwe yabaggyira ddala okuva mu maaso ge, nga bwe yali abalabudde ng’ayita mu baddu be bannabbi. Awo Abayisirayiri ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse mu nsi eya Bwasuli, gye bali ne kaakano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okutuusa Mukama lwe yagoba Isiraeri mu maaso ge nga bwe yayogerera mu baddu be bannabbi. Awo Isiraeri ne baggyibwa mu nsi yaabwe ne batwalibwa mu Bwasuli n'okutuusa leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okutuusa Mukama lwe yabaggya mu maaso ge nga bwe yabalabula ng'ayita mu baweereza be bonna abalanzi. Awo ab'omu Yisirayeli ne baggyibwa mu nsi yaabwe, ne batwalibwa mu Assiriya gye bakyali ne leero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okutuusa Mukama lwe yaggya Isiraeri mu maaso ge nga bwe yayogera n'omukono gw'abaddu be bonna bannabbi. Awo Isiraeri ne batwalirwa ddala okuva mu nsi yaabwe mu Bwasuli ne leero.