2 Kings 17:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Assuri n'aggya abantu mu Babiloni, Kuta, Avva, Kamati ne mu Sefaruvayimu, n'abasenza mu bibuga bya Samariya mu kifo ky'abantu ba Yisirayeli, ne bezza ebibuga bya Samariya, ne babeera mu bibuga byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka w’e Bwasuli n’akuŋŋaanya abantu okuva e Babulooni, Kusa, Ava, Kamasi ne Sefavayimu, n’abaleeta mu bibuga bya Samaliya, Abayisirayiri mwe baabeeranga, Samaliya ne bakitwalira ddala era ne babeera mu bibuga byakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka w'e Bwasuli n'aleeta abantu ng'abaggya e Babbulooni, Kusa, Ava, Kamasi ne Sefavayimu, n'abateeka mu bibuga eby'e Samaliya mu kifo ky'abaana ba Isiraeri: ne babeera mu Samaliya ne batuula mu bibuga byabyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka wa Assiriya n'asengula abantu okubaggya mu bibuga Babilooni, ne Kuuti, ne Avva, ne Hamati, ne Sefarivayimu, n'abasenza mu bibuga bya Samariya, mu kifo ky'Abayisirayeli. Abantu abo ne beefuga ensi y'e Samariya, ne babeera mu bibuga byayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka w'e Bwasuli n'aleeta abantu ng'abaggya e Babulooni ne Kusa ne Ava ne Kamasi ne Sefavayimu, n'abateeka mu bibuga eby'e Samaliya mu kifo ky'abaana ba Isiraeri: ne balya Samaliya ne batuula mu bibuga byayo.