2 Kings 17:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
We baasookera okubeerayo baali tebasinza Mukama, Omukama n'abasindikira empologoma, ne zibattamu abamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku ntandikwa bwe babeeramu ne batasinza Mukama, kyeyava abasindikira empologoma ne zitta abamu ku bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baali baakatandika okubeeramu, tebassaamu Mukama kitiibwa, Mukama kyeyava abasindikira empologoma ne zibattamu abamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali baakatandika okubeeramu, tebassaamu Mukama kitiibwa, Mukama kyeyava abasindikira empologoma ne zibattamu abamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe baasooka okutuula omwo ne batatya Mukama: Mukama kyeyava asindika mu bo empologoma ne zibattako abamu.