2 Kings 17:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Assuri ne bamubuulira nti: “Ab'amawanga be wasengula n'obatwala mu bibuga bya Samariya, tebamanyi mpisa za lubaale wa nsi eyo. Yabasindikira empologoma, ziiziri zibatta, kubanga tebamanyi mpisa za lubaale wa nsi eyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka w’e Bwasuli n’ategeezebwa nti, “Amawanga ge watwala n’obateeka mu bibuga bya Samaliya tebamanyi tteeka lya Katonda w’ensi eyo, kyeyavudde abasindikira empologoma okubatta, kubanga tebamanyi Katonda w’ensi kye yeetaaga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyebaava bagamba kabaka w'e Bwasuli nga boogera nti Amawanga ge watwalira ddala n'obateeka mu bibuga eby'e Samaliya tebamanyi mpisa ya Katonda ow'omu nsi: kyeyava abasindikira empologoma ne zibatta kubanga bali tebamanyi mpisa ya Katonda ow'omu nsi eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wabaawo abaabuulira kabaka wa Assiriya nti: “Abantu be watwala n'obasenza mu bibuga by'e Samariya, tebamanyi mateeka ga lubaale wa mu nsi eyo, lubaale oya kyeyava asindika empologoma, era ziri eri zibatta.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyebaava bagamba kabaka w'e Bwasuli nga boogera nti Amawanga ge watwalira ddala n'obateeka mu bibuga eby'e Samaliya tebamanyi mpisa ya Katonda ow'omu nsi: kyeyava asindika mu bo empologoma, era, laba, zibatta kubanga tebamanyi mpisa ya Katonda ow'omu nsi.