2 Kings 17:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Assuri n'alagira nti: “Mutwaleeyo omu ku bakabona be mwasiba okuva mu Samariya agende abeere nabo, abayigirize okusinza lubaale w'ensi eyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago kabaka w’e Bwasuli n’alagira nti, “Mutumeyo omu ku bakabona be mwawamba okuva mu Samaliya agende abeere eyo, ayigirize abantu amateeka ga Katonda w’ensi eyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka w'e Bwasuli n'alagira ng'ayogera nti Mutwaleeyo omu ku bakabona be mwaggyayo, bagende babeere eyo, abayigirize empisa ya Katonda ow'omu nsi eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka wa Assiriya n'alagira nti: “Mutwaleeyo omu ku bakabona be mwaggyayo agende abeere eyo, abayigirize amateeka ga lubaale w'omu nsi eyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka w'e Bwasuli n'alagira ng'ayogera nti Mutwaleeyo omu ku bakabona be mwaggyayo, bagende babeere eyo, abayigirize empisa ya Katonda ow'omu nsi.