2 Kings 17:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu ku bakabona abaggyibwa mu Samariya n'addayo n'abeeranga e Beteli, n'abayigirizanga okusinza Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omu ku bakabona eyali awaŋŋangusibbwa okuva mu Samaliya n’agenda n’abeera e Beseri, n’abayigiriza bwe kibagwanira okusinza Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omu ku bakabona be baggya mu Samaliya n'ajja n'abeera e Beseri n'abayigiriza bwe kibagwanira okutyanga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omu ku bakabona be baggya mu Samariya, n'agenda n'abeera e Beteli, n'abayigirizanga bwe basaanye okussaamu Mukama ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omu ku bakabona be baggya mu Samaliya n'ajja n'abeera e Beseri n’abayigiriza bwe kibagwanira okutyanga Mukama.