2 Kings 17:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Salumaneeseri kabaka wa Assuri yajja okulumba Ozeya; Ozeya n'afuuka muweereza we, n'amusasulanga n'omusolo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n’amulumba, Koseya n’afuuka muddu we era n’amuwanga obusuulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Salumaneseri kabaka w'e Bwasuli n'alumba Koseya n'amulwanyisa n'amuwangula; Koseya n'afuuka muddu we n'amuwanga omusolo buli mwaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Salumaneseri owa Assiriya n'alumba Hoseya n'amulwanyisa mu lutalo, n'amuwangula, Hoseya n'awanga Salumaneseri omusolo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n'amutabaala; Koseya n'afuuka muddu we n'amuleeteranga ebirabo.