2 Kings 17:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama naye baamusinzanga, era beerondangamu bakabona okumala gava wano na wali mu bantu baabwe ab'okuweerezanga mu biggwa ku bifo ebigulumivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baasinzanga Mukama, naye ne balonda n’abantu ab’engeri zonna okuva mu bokka ne bokka okuba bakabona, ab’ebifo ebigulumivu, abaabaweerangayo ssaddaaka mu masabo ag’ebifo ebigulumivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bano, ne Mukama baamusinzanga, era ne beerondangamu mu bo bennyini bakabona abaabaweerangayo ssaddaaka mu bifo ebigulumivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bano, ne Mukama baamusinzanga, era ne beerondangamu mu bo bennyini bakabona abaabaweerangayo ebitambiro mu nfo zaabwe ez'okusinzizangamu, mu bifo ebigulumivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne batyanga Mukama ne beeyawulira bakabona b'ebifo ebigulumivu nga babaggya mu bo bennyini, abaabaweerangayo ssaddaaka mu nnyumba ez'ebifo ebigulumivu.