2 Kings 17:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empisa ezo ez'edda bakyazigoberera n'okutuusa ku lunaku lwa leero; tebatya Mukama yadde okutuukiriza empisa ze, ennamula ye, etteeka n'ebiragiro Omukama bye yawa abazzukulu ba Yakobo, gwe yatuuma Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne leero bakyeyisa mu ngeri y’emu. Tebasinza Mukama so tebagoberera biragiro n’amateeka Mukama bye yalagira bazzukulu ba Yakobo, gwe yatuuma Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne leero bakyakola nga bwe baakolanga edda. Tebassaamu Mukama kitiibwa era tebakwata byabalagirwa n'ebyabakuutirwa, wadde okugondera amateeka n'ebiragiro Mukama bye yawa ab'ezzadde lya Yakobo gwe yatuuma Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne leero bakyakola nga bwe baakolanga edda. Tebassaamu Mukama kitiibwa era tebakwata byabalagirwa n'ebyabakuutirwa, wadde okugondera amateeka n'ebiragiro Mukama bye yawa ab'ezzadde lya Yakobo gwe yatuuma Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baakola na buli kati ng'empisa ez'edda bwe zaali: tebaatyanga Mukama so tebaakolanga ng'amateeka gaabwe bwe gaali newakubadde nga bwe baalagirwa newakubadde ng'etteeka n'ebiragiro bwe biri Mukama bye yalagira abaana ba Yakobo gwe yatuuma Isiraeri;