2 Kings 17:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yakola nabo endagaano, yabalagira nti: “Temusinzanga balubaale, temubavunnamiranga, temubaweerezanga, temubatambiriranga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama bwe yakola endagaano n’Abayisirayiri, yabalagira nti, “Temusinzanga bakatonda balala, so temubavuunamiranga so temubaweerezanga, wadde okuwaayo ssaddaaka gye bali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama gwe yalagaana naye endagaano n'abakuutira ng'ayogera nti Temusinzanga bakatonda balala, so temubavuunamiranga, temubaweerezanga era temuwangayo ssaddaaka gyebali:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yakola nabo endagaano, n'abakuutira ng'agamba nti: “Temuusinzenga balubaale, temuubavuunamirenga, era temuubenga baweereza baabwe, wadde okuwangayo ekitambiro eri balubaale abo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama gwe yali alagaanye naye endagaano n'abakuutira ng'ayogera nti Temutyanga bakatonda abalala, so temubakutamiranga, so temubaweerezanga, so temuwangayo ssaddaaka eri bo: