2 Kings 17:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula musinzanga Mukama yekka eyabaggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi n'omukono omugolole; oyo gwe muba musinzanga, gwe muba mutambiriranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwekuumenga okugobereranga ebiragiro n’amateeka, n’etteeka, n’ekiragiro bye yabawandiikira. Temusinzanga bakatonda abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye Mukama eyabaggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi n'omukono ogwagololwa oyo gwe mubanga musinza, gwe mubanga muvuunamira, era oyo gwe mubanga muwa ssaddaaka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye munaasinzanga Nze Mukama, eyabaggya mu nsi ye Misiri, nga nkozesa amaanyi amangi n'obuyinza obungi. Nze gwe munaavuunamiranga, era Nze gwe munaawanga ebitambiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye Mukama eyabaggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi n'omukono ogwagololwa oyo gwe mubanga mutya era oyo gwe mubanga mukutamira, era eri oyo gye mubanga muwa ssaddaaka: