2 Kings 17:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kabaka wa Assuri n'azuula nga Ozeya wa nkwe, kubanga yali atumye ababaka ewa So Kabaka w'e Misiri, ate nga takyawa na musolo kabaka wa Assuri nga bwe yali amanyidde okukola buli mwaka. Kwe kumukwata n'amusiba mu kkomera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye oluvannyuma kabaka w’e Bwasuli n’akizuula nga Koseya yali amuliddemu olukwe, kubanga yali atumye ababaka ewa So kabaka w’e Misiri, ate nga takyaweereza busuulu ewa kabaka w’e Bwasuli, nga bwe yakolanga buli mwaka. Salumaneseri kyeyava amukwata n’amuteeka mu kkomera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Kabaka oyo wa Bwasuli, n'amanya olukwe lwa Koseya olw'okujeema, nga Koseya atumidde So, kabaka wa Misiri ababaka amuyambe, bw'atyo Koseya n'atawa kabaka w'e Bwasuli musolo nga bwe yakolanga buli mwaka. Awo kabaka wa Bwasuli n'akwata Koseya n'amusiba mu kkomera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kabaka oyo owa Assiriya, n'amanya olukwe lwa Hoseya olw'okujeema, nga Hoseya atumidde So, kabaka wa Misiri ababaka amuyambe, bw'atyo Hoseya n'atawa kabaka wa Assiriya musolo nga bwe yakolanga buli mwaka. Awo kabaka wa Assiriya n'akwata Hoseya n'amusiba mu kkomera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kabaka w'e Bwasuli n'alaba olukwe mu Koseya; kubanga yali atumidde So kabaka w'e Misiri ababaka, n'atawa kabaka w'e Bwasuli kirabo nga bwe yakolanga buli mwaka: kabaka w'e Bwasuli kyeyava amuteeka mu kkomera n'amusiba.