2 Kings 17:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'amawanga bano bwe baabanga basinza Omukama, eno ate nga bwe basinza ebifaananyi bya balubaale. N'okutuusa ku lunaku lwa leero abaana baabwe n'abazzukulu bakyakola nga bajjajjaabwe bwe baakolanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde ng’amawanga ago baasinzanga Mukama, kyokka beeyongeranga okusinza bakatonda baabwe. Ne leero abaana baabwe ne bazzukulu baabwe bakola nga bajjajjaabwe bwe baakolanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale abantu ab'amawanga ago ne basinzanga Mukama, kyokka era ne basinzanga n'ebifaananyi bya bakatonda babwe ebyole. N'abaana baabwe nabo bwe batyo bwe baakolanga, era ne bazzukulu baabwe bwe bakyakola n'okutuusa kati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale abantu ab'amawanga ago ne basinzanga Mukama, kyokka era ne basinzanga n'ebifaananyi bya balubaale baabwe ebyole. N'abaana baabwe nabo bwe batyo bwe baakolanga, era ne bazzukulu baabwe bwe bakyakola n'okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo amawanga gano ne gatya Mukama ne baweereza ebifaananyi byabwe ebyole; era n'abaana baabwe bwe batyo n'abaana b'abaana baabwe, nga bajjajjaabwe bwe baakolanga, bwe batyo bwe baakola na buli kati.