2 Kings 17:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Assuri yazinda ensi yonna, n'agenda e Samariya n'akizingiza okumala emyaka esatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka w’e Bwasuli n’alumba ensi yonna, n’atuuka e Samaliya, n’akizingiriza emyaka esatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka w'e Bwasuli n'alumba ensi ya Isiraeri okugirwanyisa, najja e Samaliya n'akizingiriza emyaka esatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka wa Assiriya n'alumba ensi ya Yisirayeli, n'azingiza Ekibuga Samariya okumala emyaka esatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka w'e Bwasuli n'atabaala ensi yonna n'ayambuka e Samaliya n'akizingiriza emyaka esatu.