2 Kings 17:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogwomwenda ogwa Ozeya, kabaka wa Assuri n'awamba Samariya; abantu ba Yisirayeli n'abawaŋŋangusiriza mu Assuri. Yabateeka mu Kala, ku Kabori, eky'omugga gw'e Gozani, ne mu bibuga by'Abamedi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya, kabaka w’e Bwasuli n’awamba Samaliya, n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse e Bwasuli, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga ogw’e Gozani, ne mu bibuga eby’Abameedi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogw'omwenda nga Koseya ye kabaka wa Isiraeri, kabaka wa Bwasuli n'awamba ekibuga Samaliya, n'atwala ab'omu Isiraeri mu Bwasuli nga basibe, abamu n'abateeka mu kibuga Kala, abalala mu kitundu ky'e Gozani okumpi n'omugga Kaboli ne mu bibuga by'Abameedi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'omwenda nga Hoseya ye kabaka wa Yisirayeli, kabaka wa Assiriya n'awamba Ekibuga Samariya, n'atwala ab'omu Yisirayeli mu Assiriya nga basibe, abamu n'abateeka mu Kibuga Hala, abalala mu Kitundu ky'e Gozani okumpi n'Omugga Habori, ne mu bibuga by'Abameedi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'omwenda ogwa Koseya kabaka w'e Bwasuli n'amenya Samaliya, n'atwalira ddala Isiraeri e Bwasuli, n'abateeka mu Kala ne mu Kaboli ku mugga ogw'e Gozani ne mu bibuga eby'Abameedi.