2 Kings 17:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kyagwawo kubanga abantu ba Yisirayeli baayonoona ew'Omukama Katonda waabwe eyali abaggye mu nsi y'e Misiri mu mikono gya Faraawo kabaka w'Abamisiri. Baasinza balubaale,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino byonna byabaawo kubanga Abayisirayiri bayonoona mu maaso ga Mukama Katonda waabwe, eyali abaggye mu Misiri okuva mu mukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Baasinzanga bakatonda abalala,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyo kyali bwe kityo kubanga abaana ba Isiraeri baali boonoonye Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, mu mukono gwa Falaawo kabaka w'e Misiri, ne baaweerezanga bakatonda abalala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo kyabaawo, kubanga Abayisirayeli baakola ebibi ne banyiiza Mukama, Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri mu mikono gya kabaka waayo, ne basinzanga balubaale,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne kiba bwe kityo kubanga abaana ba Isiraeri baali boonoonye Mukama Katonda waabwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri okuva wansi w'omukono gwa Falaawo kabaka w'e Misiri, ne batya bakatonda abalala,