2 Kings 17:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bakoppa empisa z'amawanga Omukama be yali agobyewo mu maaso g'abantu ba Yisirayeli, n'empisa za bakabaka baabwe ze baayisaangamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bagobereranga empisa za baamawanga Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe. Era bagobereranga n’emizizo bassekabaka ba Isirayiri gye baali bataddewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ne batambuliranga mu mpisa z'amawanga ago, Mukama ge yagoba mu maaso gabwe ne mu mateeka ga ba ssekabaka ba Isiraeri ge baateekanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bagoberera empisa z'ab'amawanga amalala, Mukama be yagoba mu nsi eyo nga bo Abayisirayeli banaatera okutuuka, era ne bakolera ku bulombolombo bassekabaka ba Yisirayeli bwe baateekawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne batambulira mu mateeka g'amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri ne mu ga bassekabaka ba Isiraeri, ge baateeka.