2 Kings 17:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nkiso baakola ebintu ebitali bituufu ku Mukama Katonda waabwe. Beezimbira ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe okuva ku munaala gw'abakuumi okutuuka ku kibuga okuli ekigo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri ne bakolanga mu nkizo ebyo ebitaali birungi mu maaso ga Mukama. Ne bazimba ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, okuviira ddala ku minaala omwabeeranga abakuumi okutuuka ku kibuga ekiriko bbugwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abaana ba Isiraeri ne bakoleranga mukyama ebigambo ebitali birungi ku Mukama Katonda waabwe; ne beezimbira ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, mu kigo eky'omukuumi era ne mu bibuga ebiriko bbugwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne bakoleranga mu kyama ebintu ebitali birungi era ebitasanyusa Mukama, Katonda waabwe. Ne beezimbira ebifo ebigulumivu eby'okusinzizangamu mu bibuga byabwe byonna ebinene n'ebitono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abaana ba Isiraeri ne bakolanga kyama ebigambo ebitali birungi eri Mukama Katonda waabwe, ne beezimbira ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna, mu kigo eky'omukuumi era ne mu kibuga ekiriko enkomera.