2 Kings 18:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma lw'emyaka esatu n'akiwamba; gwe mwaka ogwomukaaga ogwa Kezekiya, kwe kugamba nti gwe gwomwenda ogwa Ozeya kabaka wa Yisirayeli; Samariya ne kiwambibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe wayitawo emyaka esatu, mu mwaka ogw’omukaga ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, ate nga gwe mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya kabaka wa Isirayiri, Samaliya ne kiwambibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emyaka esatu bwe gyayitawo Samaliya nga kizingiziddwa, ne bakimenya ne bakiwangula: gwe mwaka ogw'omukaaga ogwa kabaka Keezeekiya kabaka wa Yuda ate nga gwe mwaka ogw'omwenda ogwa Koseya kabaka wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emyaka esatu bwe gyayitawo nga kizingiziddwa, ne kiwangulwa, gwe gwali omwaka ogw'omukaaga ogw'obufuzi bwa Heezeekiya, ate nga gwe gw'omwenda ogw'obufuzi bwa Hoseya, kabaka wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo emyaka esatu bwe gyayitawo ne bakimenya: mu mwaka ogw'omukaaga ogwa Keezekiya, gwe mwaka ogw'omwenda ogwa Koseya kabaka wa Isiraeri, Samaliya ne kimenyebwa.