2 Kings 18:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Assuri n'awaŋŋangusiriza abantu ba Yisirayeli mu Assuri, n'abateeka mu Kala ne Kabori, eky'omugga Gozani, ne mu bibuga by'Abamedi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka w’e Bwasuli n’atwala Abayisirayiri e Bwasuli mu buwaŋŋanguse, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga gw’e Gozani ne mu bibuga by’Abameedi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka w'e Bwasuli n'atwala aba Isiraeri nga basibe e Bwasuli abamu n'abateeka e Kala, abalala e Kaboli ku mugga ogw'e Gozani, n'abalala mu bibuga eby'Abameedi:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Assiriya n'atwala ab'omu Yisirayeli mu Assiriya, abamu n'abatwala mu Kibuga Hala, abalala mu kitundu ky'e Gozani okumpi n'Omugga Habori, n'abalala mu bibuga by'Abameedi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka w'e Bwasuli n'atwalira ddala Isiraeri e Bwasuli, n'abateeka mu Kala ne mu Kaboli ku mugga ogw'e Gozani, ne mu bibuga eby'Abameedi: