2 Kings 18:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ogwa kabaka Kezekiya, Sennakeribu kabaka wa Assuri yalumba ebibuga byonna ebya Yuda okuli n'ebigo, n'abiwamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga byonna ebyaliko bbugwe ebya Yuda, n’abiwamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'ena (14) ogwa kabaka Keezeekiya Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'atabaala ebibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda, n'abimenya n'abiwangula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ogw'obufuzi bwa kabaka Heezeekiya, Sennakeribu kabaka wa Assiriya n'alumba ebibuga byonna ebya Buyudaaya ebiriko ebigo ebigumu, n'abiwangula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ogwa kabaka Keezeekiya Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'atabaala ebibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda, n'abimenya.