2 Kings 18:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya kabaka wa Yuda n'atuma ababaka ewa kabaka wa Assuri e Lakisi, n'agamba nti: “Nnyonoonye; nviira; kyonna ky'onooba onsalidde nnaakigumiikiriza.” Kabaka wa Assuri n'asalira Kezekiya kabaka wa Yuda talenta eza ffeeza ebikumi bisatu, ne talenta za zaabu amakumi asatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Keezeekiya kabaka wa Yuda n’aweereza obubaka eri kabaka w’e Bwasuli e Lakisi ng’agamba nti, “Nnyonoonye mu maaso go; ddayo ondeke. Nnaakusasula byonna by’ononsalira.” Kabaka w’e Bwasuli n’awooza ku Keezeekiya kabaka wa Yuda ttani kkumi eza ffeeza ne ttani emu eya zaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Keezeekiya kabaka wa Yuda n'atumira kabaka w'e Bwasuli e Lakisi ng'ayogera nti Nnyonoonye; ndeka oddeyo: by'ononsalira nja kubikuwa. Awo kabaka w'e Bwasuli n'asalira Keezeekiya kabaka wa Yuda effeeza talanta bisatu (300) n'ezaabu talanta asatu (30).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya n'atumira kabaka wa Assiriya eyali e Lakisi mu kiseera ekyo. Mu bubaka bwe, n'agamba nti: “Nnyonoonye. Ddayo oleme kunnumba. By'ononsalira, nnaabiwa.” Kabaka wa Assiriya n'asalira Heezeekiya kabaka wa Buyudaaya ffeeza talanta ebikumi bisatu, ne zaabu talanta amakumi asatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Keezeekiya kabaka wa Yuda n'atumira kabaka w'e Bwasuli e Lakisi ng'ayogera nti Nnyonoonye; ddayo onveeko: by'ononsalira nnaabikkiriza. Kabaka w'e Bwasuli n'asalira Keezeekiya kabaka wa Yuda effeeza talanta ebikumi bisatu n'ezaabu talanta amakumi asatu.