2 Kings 18:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya n'awaayo ffeeza yenna eyasangibwawo mu Kiggwa ky'Omukama ne mu nkuluze y'olubiri lwa kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keezeekiya n’amuwa ffeeza yonna eyali mu yeekaalu ya Mukama n’eyo eyali mu mawanika ag’omu lubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Keezeekiya n'abambula effeeza yonna eyali mu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Heezeekiya n'amuwa ffeeza yenna eyali mu Ssinzizo, ne mu ggwanika ly'olubiri lwa kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Keezeekiya n'amuwa effeeza yonna eyalabika mu nnyumba ya Mukama ne mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka.