2 Kings 18:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo Kezekiya yakalakatako zaabu yenna gwe yali asiize ku nzigi ne ku myango eby'Ekiggwa ky'Omukama, n'amuwa kabaka wa Assuri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Keezeekiya kabaka wa Yuda n’aggyako zaabu gwe yali atadde ku nzigi ne ku minyolo egya yeekaalu ya Mukama, n’amuwa kabaka w’e Bwasuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo Keezeekiya n'abambula ezaabu eyali ku nzigi za Yeekaalu ya Mukama ne ku mpagi Keezeekiya kabaka wa Yuda gye yali abisseeko, n'agiwa kabaka w'e Bwasuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo, Heezeekiya n'abembula ne zaabu ku nzigi z'Essinzizo, ne ku mpagi zaamu, ye yennyini kabaka Heezeekiya gwe yali abisseeko, n'amuwa kabaka wa Assiriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo Keezeekiya n'asala ezaabu ku nzigi za yeekaalu ya Mukama ne kumpagi Keezeekiya kabaka wa Yuda ze yali abisseeko, n'agiwa kabaka w'e Bwasuli.