2 Kings 18:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusenero omukulu n'abagamba nti: “Mugambe Kezekiya nti: Kabaka omukulu, kabaka wa Assuri kino ky'agamba: ‘Weesiga ki ekyo ekikuyinula?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Labusake n’abagamba nti, “Mutegeeze Keezeekiya nti, “ ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli nti, Kiki kye weesiga?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Labusake n'abagamba nti Mugambe nno Keezeekiya nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka omukulu ow'e Bwasuli nti Weesiga ki?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu ku bakungu Abassiriya n'abagamba nti: “Mugambe Heezeekiya nti: ‘Kabaka omukulu, kabaka wa Assiriya, akubuuza nti, kiki kye weesiga?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Labusake n'abagamba nti Mugambe nno Keezeekiya nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka omukulu kabaka w'e Bwasuli nti Bwesige ki buno bwe weesiga? nti