2 Kings 18:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka; yafugira emyaka abiri mu mwenda mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Abi, muwala wa Zakariya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano, we yatandikira okufuga, n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi, n’erinnya lya nnyina ye yali Abi muwala wa Zekkaliya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yali awezzeza emyaka abiri mu etaano (25) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka abiri mu mwenda (29) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Abi muwala wa Zekkaliya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga wa myaka amakumi abiri mu etaano, n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Abiya, muwala wa Zekariya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Abi muwala wa Zekkaliya.